2 Kings 7:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo abasajja bana abagenge okumpi n'omuzigo gwa wankaaki, ne bagambagana nti: “Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tunaafa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo abasajja bana abaagengewala abaabeeranga ku mulyango gwa wankaaki w’ekibuga. Ne bagambagana bokka ne bokka nti, “Kiki ekitutuuza wano okutuusa okufa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabweru ku wankaaki awayingirirwa waaliwo abasajja bana abagenge ne bagambagana nti Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tulifa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebweru wa wankaaki w'Ekibuga Samariya waaliwo abasajja abagenge bana. Ne bagambagana nti: “Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tunaafa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo waaliwo abasajja bana abagenge awayingirirwa mu wankaaki: ne bagambagana nti Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tulifa?