2 Kings 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe tugamba nti: ‘Tuyingire mu kibuga,’ enjala gyeri, tujja kufiirayo. Bwe tusigala wano era tujja kufa. Mugire tuddukire mu nsiisira za Aramu tweweeyo. Bwe banaatusaasira, nga tuwonye. Bwe banaatutta, kale tunaafa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe tunaagamba nti, ‘Tuyingire mu kibuga,’ enjala gy’eri, era tunaafiirayo; ate bwe tusigala wano, era nawo tujja kufiirawo. Noolwekyo tulage mu nkambi y’Abasuuli, bwe banaatusaasira, tunaaba balamu, bwe banaatutta, kale kinaaba bwe kityo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe tugamba nti Tuyingire mu kibuga, ekibuga kirimu enjala, ejja kututtirayo. Bwe tusigala wano, era tujja kufa. N'olwekyo mujje tugende mu lusiisira lw'Abasuuli. Bwe banaatuleka nga tuli balamu, olwo tunaaba balamu. Bwe banaatutta, kale tunaafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe tugamba nti: ‘Tuyingire mu kibuga,’ ekibuga kirimu enjala, ejja kututtirayo. Bwe tusigala wano, era tujja kufa. N'olwekyo mujje tugende mu lusiisira lw'Abasiriya. Bwe banaatuleka nga tuli balamu, olwo tunaaba balamu. Bwe banaatutta, kale tunaafa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga tunaagamba nti Tunaayingira mu kibuga, kale enjala ng'eri mu kibuga, kale tunaafiira omwo: era oba nga tunaatuula wano butuuzi, era tunaafa. Kale nno mujje tusenge eggye ly'Abasuuli: bwe banaatuwonya nga balamu, kale tuliba balamu; era bwe banaatutta, tunaamala gafa.