2 Kings 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Omukama yawuliza Abaaramu encaako y'ebigaali omusinde gw'embalaasi n'okuwuuma kw'eggye eddene. Ne bagambagana nti: “Mulabe, kabaka wa Yisirayeli aguliridde bakabaka b'Abakitti ne bakabaka b'Abamisiri bajje batulwanyise.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yalowozesa eggye ly’Abasuuli nti kabaka wa Isirayiri yali apangisizza bakabaka b’Abakiiti n’ab’Abamisiri okujja okumulwanirira, bwe lyawulira eddoboozi ly’amagaali n’eddoboozi ly’embalaasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama yali awulizza eggye ly'Abasuuli eddoboozi ly'amagaali n'eddoboozi ly'embalaasi, eddoboozi ly'eggye eddene: ne bagambagana nti, Kabaka wa Isiraeri apangisizza amaggye ga bakabaka b'Abakiiti n'Abamisiri okututabaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yali aleetedde Abassiriya okuwulira amaloboozi agali ng'ag'eggye eddene erijja n'embalaasi n'amagaali. Ne bagambagana nti: “Abange, kabaka wa Yisirayeli apangisizza bakabaka b'Abahiiti, n'ab'Abamisiri okujja okutulwanyisa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama yali awulizizza eggye ly'Abasuuli eddoboozi ly'amagaali n'eddoboozi ly'embalaasi, eddoboozi ly'eggye eringi: ne bagambagana nti Laba, kabaka wa Isiraeri atuweereddeko bakabaka b'Abakiiti ne bakabaka b'Abamisiri okututabaala.