2 Kings 7:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagenge bwe baatuuka ku ndeboolebo z'olusiisira, ne bayingira mu weema emu. Ne balya, ne banywa, ne batwala ffeeza, zaabu, n'ebyambalo, ne bagenda babikweka. Ne bakomawo ne bayingira mu weema endala, namwo ne batwalamu ebintu, ne bakweka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagenge bwe baatuuka ku nkambi w’ekoma, ne bayingira mu emu ku weema, ne balya ne banywa era ne beetikka n’effeeza ne zaabu n’engoye, ne bagenda ne babikweka. N’oluvannyuma ne bakomawo, ne bayingira mu weema endala, ne baggyayo ebyalimu, ne bagenda ne babikweka nabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abagenge abo bwe baatuuka ku lusiisira, ne bayingira mu weema emu ne balya ne banywa, ne baggyamu effeeza n'ezaabu n'ebyambalo, ne bagenda ne babikweka; ne bakomawo ne bayingira mu weema endala ne baggya n'omwo ne bagenda ne bakweka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagenge bwe baatuuka olusiisira we lutandikira, ne bayingira mu weema emu, ne balya ne banywa, ne baggyamu ffeeza ne zaabu n'ebyambalo ne bagenda ne babikweka. Ne bakomawo ne bayingira mu weema endala, ne baggyamu ebyalimu, nabyo ne bagenda ne babikweka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abagenge abo bwe baatuuka ku lusiisira we lukoma, ne bayingira mu weema emu ne balya ne banywa; ne baggyamu effeeza n'ezaabu n'ebyambalo, ne bagenda ne babikweka; ne bakomawo ne bayingira mu weema endala ne baggya n'omwo ne bagenda ne bakweka.