2 Kings 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ne bagambagana nti: “Kye tukola si kituufu; luno olunaku lwa mawulire malungi, ate ffe tugasirikidde. Bwe tunaalinda okutuusa enkya, tujja kubonerezebwa. Mujje tugende tutegeeze mu lubiri lwa kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bagambagana nti, “Kye tukola si kituufu. Luno olunaku lwa bigambo birungi; bwe tunaasirika ne tulinda okutuusa enkya, tujja kubonerezebwa. Noolwekyo tugende tutegeeze ab’omu nju ya kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bagambagana nti Tetukola bulungi: leero lunaku lwa bigambo birungi naffe tusirika: bwe tunaalindirira obudde ne bukya, tunajjirwa okubonerezebwa: kale nno mujje tugende tubuulire ab'omu nnyumba ya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bagambagana nti: “Kye tukola si kituufu. Olwaleero lunaku lwa mawulire malungi, naye ffe tusirise nago. Bwe tunaalinda okutuusa obudde okukya tulyoke tugasaasaanye, tujja kubonerezebwa. N'olwekyo mujje tugende tubuulire abakungu ba Kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)