2 Kings 8:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa yali agambye omukazi gwe yawonyeza mutabani we nti: “Situka, ogende n'ennyumba yo, mulage yonna gye munaayagala, kubanga Omukama alangiridde enjala; ejja kugwa mu nsi emale emyaka musanvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Erisa n’agamba omukazi gwe yazuukiriza mutabani we nti, “Golokoka ove wano ogende n’ab’omu nnyumba yo bonna mu nsi gy’oliyinza okubeeramu, kubanga Mukama alireeta ekyeeya mu nsi okumala emyaka musanvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa yali agambye omukazi gwe yazuukiriza omwana we ng'ayogera nti Situka ogende ggwe n'ennyumba yo obeere yonna yonna gy'oliyinza okubeera: kubanga Mukama ajja kuleeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa yali agambye omukazi Omusunammu gwe yazuukiriza omwana we nti: “Situka ogende, ggwe n'ab'omu maka go, obeeko awalala gy'oyinza okugira ng'okyabeera, kubanga Mukama asindise enjala ebe ku nsi, okumala emyaka musanvu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Erisa yali agambye omukazi gwe yazuukiriza omwana we ng'ayogera nti Golokoka ogende ggwe n'ennyumba yo obeere yonna yonna gy'oliyinza okubeera: kubanga Mukama ayise enjala; kale n'okugwa erigwira ku nsi emyaka musanvu.