2 Kings 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'amugamba nti: “Genda, mugambe nti: ‘Kituufu ojja kuwona,’ naye Omukama andaze nti kwo okufa ajja kufa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’amuddamu nti, “Genda omutegeeze nti, ‘Ojja kuwona;’ naye Mukama akimbikulidde nti talirema kufa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'amuddamu nti Genda omugambe nti ddala ajja kuwona obulwadde obumuluma; naye Mukama antegeezezza nga talirema kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'amuddamu nti: “Genda omugambe nti ddala ajja kuwona obulwadde obumuluma, kyokka Mukama andaze nti ddala ajja kufa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erisa n'amugamba nti Genda omugambe nti Tolirema kuwona; naye Mukama antegeezezza nga talirema kufa.