2 Kings 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu wa Katonda n'asimba Kazayeli amaaso okutuusa ng'asobeddwa; omuntu wa Katonda n'akaaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amutunuulira n’amaaso ag’enkaliriza, okutuusa Kazayeeri bwe yakwatibwa ensonyi, omusajja wa Katonda n’atandika okukaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erisa n'atunuulira Kazayeeri enkaliriza, okutuusa Kazayeeri ensonyi lwe zaamukwata. Erisa omusajja wa Katonda n'akaaba amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elisa n'atunuulira Hazayeeli enkaliriza, okutuusa Hazayeeli ensonyi lwe zaamukwata. Elisa omusajja wa Katonda n'akaaba amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amwekaliriza amaaso okutuusa ensonyi lwe zaamukwata: omusajja wa Katonda n'akaaba amaziga.