2 Kings 8:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kazayeli n'amugamba nti: “Lwaki mukama wange akaaba?” N'ayanukula nti: “Kubanga mmanyi ebibi by'onookola abantu ba Yisirayeli: Ebibuga byabwe okuli n'ebigo ojja kubyokya omuliro, abavubuka baabwe obasanjage n'ekitala, obwana bwabwe obuto obuseseggule ku ttaka, abali embuto obabaage.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kazayeeri n’abuuza nti, “Kiki ekikaabya mukama wange?” Erisa n’amuddamu nti, “Kubanga mmanyi obubi bw’olikola Abayisirayiri; olikuma omuliro ku bigo byabwe, n’otta abavubuka baabwe n’ekitala, n’osesebbulira abaana abato ku ttaka, era n’obaaga n’abakyala abali embuto.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kazayeeri n'amubuuza nti Mukama wange okaabira ki? Erisa n'addamu nti Kubanga mmanyi obubi bw'olikola abaana ba Isiraeri: ebigo byabwe olibyokya omuliro, abalenzi baabwe olibatta n'ekitala, olitta abaana baabwe abato, era olibaaga abakazi baabwe abali embuto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hazayeeli n'amubuuza nti: “Mukama wange, okaabira ki amaziga?” Elisa n'addamu nti: “Kubanga mmanyi eby'akabi by'olikola Abayisirayeli. Ebigo byabwe ebigumu olibyokya omuliro, olitta abavubuka baabwe mu lutalo, era olibaaga bakazi baabwe abali embuto.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kazayeeri n'ayogera nti Mukama wange akaabira ki? N'addamu nti Kubanga mmanyi obubi bw'olikola abaana ba Isiraeri: ebigo byabwe olibyokya omuliro, n'abalenzi baabwe olibatta n'ekitala, era olitandagira abaana baabwe abato, era olibaaga abakazi baabwe abali embuto.