2 Kings 8:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kazayeli n'agamba nti: “Leero nze omuweereza wo embwa obubwa, ne nkola eky'obuzira ng'ekyo?” Elisa n'agamba nti: “Omukama andaze nti ggwe onoofuuka kabaka wa Aramu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kazayeeri n’addamu nti, “Nze ani omuddu wo, embwa obubwa, ayinza okukola ekintu ng’ekyo?” Erisa n’amuddamu nti, “ Mukama akimbikulidde nti ggwe ogenda okubeera kabaka w’e Busuuli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kazayeeri n'ayogera nti Omuddu wo kye ki, embwa obubwa, akukola ekigambo ekyenkanidde awo? Erisa n'addamu nti Mukama antegeezezza nga gw'oliba kabaka w'e Busuuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hazayeeli n'abuuza nti: “Omuweereza wo ataliiko bwe ndi, ndikola ntya ebyo ebyenkanidde awo?” Elisa n'addamu nti: “Mukama andaze nti oliba kabaka wa Siriya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kazayeeri n'ayogera nti Naye omuddu wo kye ki, ye mbwa obubwa, akole ekigambo ekyo ekikulu? Erisa n'addamu nti Mukama antegeezezza nga gw'oliba kabaka w'e Busuuli.