2 Kings 8:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'avaayo ewa Elisa, n'ajja ewa mukama we. Beni-Adadi n'amubuuza nti: “Elisa yakugambye ki?” N'ayanukula nti: “Yaŋŋambye nti: ‘Ojja kuwona.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’ava mu maaso ga Erisa, n’addayo eri mukama we. Benikadadi n’amubuuza nti, “Erisa yakugambye ki?” Kazayeeri n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti eky’amazima ojja kuwona.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ava eri Erisa n'addayo eri mukama we; Benikadadi n'amubuuza nti Erisa akugambye ki? N'addamu nti Aŋŋambye nti Ojja kuwona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hazayeeli n'ava awali Elisa, n'addayo eri Benihadadi mukama we. Benihadadi n'amubuuza nti: “Elisa akugambye ki?” Hazayeeli n'addamu nti: “Aŋŋambye nti ddala ojja kussuuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ava awali Erisa n'ajja eri mukama we; n'amugamba nti Erisa yakugamba ki? N'addamu nti Yambuulira nga tolirema kuwona.