2 Kings 8:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye enkeera Kazayeli yaddira ekigoye ekigumu n'akinnyika mu mazzi n'akimubikka ku maaso, n'afa. Kazayeli n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olunaku olwaddirira, enkeera, n’addira ekiwero ekinene, n’akinnyika mu mazzi, n’akibikka ku maaso ga kabaka, okutuusa bwe yafa. N’oluvannyuma Kazayeeri n’alya obwakabaka mu kifo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka enkeera Kazayeeri n'addira bulangiti n'aginnyika mu mazzi n'agimuteeka ku nnyindo n'omumwa, kabaka n'afa ekiziyiro. Kazayeeri n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka enkeera Hazayeeli n'addira bulangiti n'aginnyika mu mazzi, n'agimuzibikiza ennyindo n'omumwa, kabaka n'afa ekiziyiro. Hazayeeli n'afuuka kabaka mu kifo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya n'addira eky'okwebikka n'akinnyika mu mazzi n'akiteeka ku maaso ge n'okufa n'afa: Kazayeeri n'afuga mu kifo kye.