2 Kings 8:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwokutaano ogwa Yoramu mutabani wa Akabu kabaka wa Yisirayeli, nga Yosafati ye kabaka wa Yuda, Yoramu mutabani wa Yosafati n'atandika okufuga Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogwokutaano nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati, kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, Yekosafaati nga ye kabaka wa Yuda mu biro ebyo, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokutaano nga Yoraamu mutabani wa Ahabu ye kabaka wa Yisirayeli, ne Yehosafaati nga ye kabaka wa Buyudaaya, mu kiseera ekyo, Yehoraamu mutabani wa Yehosafaati oyo, n'afuuka kabaka wa Buyudaaya
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, Yekosafaati nga ye kabaka wa Yuda mu biro ebyo, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.