2 Kings 8:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatambulira mu makubo ga bakabaka ba Yisirayeli, ng'ennyumba ya Akabu bwe yali ekoze, kubanga yali awasizza muwala wa Akabu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekolaamu n’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri ng’ab’ennyumba ya Akabu bwe baakola, n’okuwasa n’awasa omu ku bawala ba Akabu. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: era n'awasa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yawasa muwala wa Ahabu, era ng'ab'ennyumba ya Ahabu bwe baakola, n'agoberera empisa embi eza bakabaka ba Yisirayeli ng'akola ebibi, n'anyiiza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yafumbirwa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.