2 Kings 8:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olw'okubeera omuweereza we Dawudi, Omukama n'atayagala kuzikiriza Yuda. Anti yali asuubizza okulekerawo Dawudi n'ezzadde lye omumuli ennaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama n’atazikiriza Yuda, ku lwa Dawudi omuddu we, gwe yasuubiza nti alireka ettabaaza ye ng’eyaka n’okutuusa ku bazzukulu be emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama teyayagala kuzikiriza Yuda kubanga yasuubiza omuddu we Dawudi ng'ab'ezadde lye banaafuganga obwakabaka obwo emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Mukama n'atayagala kuzikiriza Buyudaaya, kubanga yasuubiza omuweereza we Dawudi ng'ab'ezzadde lye banaafuganga obwakabaka obwo emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama teyayagala kuzikiriza Yuda ku lwa Dawudi omuddu we nga bwe yamusuubiza okumuwa ettabaaza olw'abaana be emirembe gyonna.