2 Kings 8:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ku olwo Edomu n'ajeemera Yuda n'okutuusa ku lunaku lwa leero. Mu budde obwo ne Libuna n'ajeema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu kiseera ekyo Edomu n’ajeemera obufuzi bwa Yuda n’okutuusa ku lunaku lwa leero. Mu kiseera kye kimu ab’e Libuna nabo ne bajeema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Edomu n'ejeemera Yuda n'okutuusa kati. Era mu kiseera ekyo, n'ekibuga Libuna ne kijeema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Edomu n'ejeemera Buyudaaya n'okutuusa kati. Era mu kiseera ekyo, n'ekibuga Libuna ne kijeema.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda ne leero. Awo Libuna n'ajeema mu biro ebyo.