2 Kings 8:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoramu n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa wamu nabo mu Kibuga kya Dawudi; mutabani we Akaziya n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekolaamu n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Akaziya mutabani we n’amusikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekolaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikirwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoraamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu Kibuga kya Dawudi, mutabani we Ahaaziya n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yolaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikirwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.