2 Kings 8:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akaziya yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu ebiri; yafugira omwaka gumu mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Ataliya muzzukulu wa Omuri kabaka wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akaziya yalina emyaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka, n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli kabaka wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali aweza emyaka abiri mu ebiri (22) bwe yatandika okufuga; n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli kabaka wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga wa myaka amakumi abiri mu ebiri, n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Ataliya muwala wa Ahabu era muzzukulu wa Kabaka Omuri owa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli kabaka wa Isiraeri.