2 Kings 8:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatambulira mu makubo g'ennyumba ya Akabu. Yakola ebibi mu maaso g'Omukama, ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola, anti mu nnyumba ya Akabu yali muko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atambulira mu makubo ga b’ennyumba ya Akabu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ab’omu nnyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atambulira mu kkubo ly'ennyumba ya Akabu n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahaaziya nga bwe yali omujjwa mu nnyumba ya Ahabu, yagoberera empisa embi ez'ab'ennyumba eyo, n'akola ebibi nga bo bye baakolanga, n'anyiiza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atambulira mu kkubo ly'ennyumba ya Akabu n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.