2 Kings 8:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era yagenda ne Yoramu mutabani wa Akabu okulwanyisa Kazayeli kabaka wa Aramu mu Ramoti-Gileyaadi, Abaaramu ne bafumita Yoramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akaziya n’agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi, era eyo Abasuuli ne bafumitirayo Yolaamu, n’afunirayo ebiwundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Akaziya n'agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Ahaaziya n'agenda ne Kabaka Yoraamu owa Yisirayeli mu lutalo okulwanyisa Hazayeeli kabaka wa Siriya, olutalo ne lukwajjira e Ramoti Gileyaadi. Abassiriya ne bafumita Yoraamu ebiwundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.