2 Kings 8:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Yoramu n'akomawo e Yezureeli ajjanjabibwe ebiwundu Abaaramu bye baamufumita mu Rama ng'alwana ne Kazayeli kabaka wa Aramu. Akaziya mutabani wa Yoramu kabaka wa Yuda n'aserengeta e Yezureeli alabe ku Yoramu mutabani wa Akabu kubanga yali afunye obuvune.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Yolaamu n’addayo e Yezuleeri okumujjanjaba ebiwundu Abasuuli bye baamuleetako ng’ali e Lama, bwe yali ng’alwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’aserengeta e Yezuleeri okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu, kubanga yali afumitiddwa ebiwundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Yolaamu n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'agenda e Yezuleeri okulaba Yolaamu mutabani wa Akabu obulwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Yoraamu n'akomawo e Yezireeli amale okussuuka ebiwundu Abassiriya bye baamufumitira e Raama ng'alwanyisa Hazayeeli kabaka wa Siriya. Kabaka Ahaaziya mutabani wa Yehoraamu kabaka wa Buyudaaya n'agendayo okumulaba obulwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Yolaamu n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'aserengeta okulambula Yolaamu mutabani wa Akabu e Yezuleeri kubanga alwadde.