2 Kings 8:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyaka omusanvu bwe gyaggwaako, omukazi n'ava mu nsi y'Abafilisitiini n'akomawo, n'agenda ewa kabaka okuwanjaga addizibwe ennyumba ye n'obutaka bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’emyaka omusanvu, n’akomawo okuva mu nsi y’Abafirisuuti, n’alaga eri kabaka okumwegayirira addizibwe ekibanja kye n’ennyumba ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka emyaka omusanvu bwe gyaggwaako, omukazi n'akomawo ng'ava mu nsi y'Abafirisuuti: n'agenda eri kabaka n'amusaba okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyaka egyo omusanvu bwe gyaggwaako, omukazi n'ava mu nsi y'Abafilistiya, n'akomawo mu Yisirayeli. N'agenda eri kabaka okusaba okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka emyaka omusanvu bwe gyayitawo; omukazi n'akomawo ng'ava mu nsi y'Abafirisuuti: n'afuluma okukaabirira kabaka olw'ennyumba ye n'ekyalo kye: