2 Kings 8:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka yali ayogera ne Gekazi omuweereza w'omuntu wa Katonda, nga yaakamugamba nti: “Nnyumiza ku bikuuno byonna Elisa bye yakola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo kye kimu kabaka yali anyumyamu ne Gekazi omuweereza w’omusajja wa Katonda, nga kabaka amugambye nti, “Ntegeeza ebintu ebikulu byonna Erisa by’akoze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yasanga kabaka ayogera ne Gekazi omuddu wa Erisa omusajja wa Katonda ng'agamba nti Nkwegayiridde, mbuulira byonna ebikulu Erisa bye yakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yasanga kabaka ayogera ne Gehazi omuweereza wa Elisa omusajja wa Katonda, ng'agamba nti: “Nkwegayiridde, mbuulira byonna ebikulu Elisa bye yakola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka yali ng'ayogera ne Gekazi omuddu w'omusajja wa Katonda ng'agamba nti Nkwegayiridde, mbuulira ebikulu byonna Erisa bye yakola.