2 Kings 8:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aba akyamunyumiza nga Elisa bwe yazuukiza omufu, n'omukazi nnyini mwana gwe yali azuukizza n'atuuka, n'awanjaga ewa kabaka amuwe ennyumba ye n'obutaka bwe. Gekazi n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, oyo ye mukazi, n'ono ye mutabani we Elisa gwe yazuukizza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Gekazi bwe yali ng’akyanyumiza kabaka, engeri Erisa bwe yazuukiza abafu, omukazi eyali ne mutabani we, Erisa gwe yazuukiza n’atuuka, okwegayirira kabaka ng’asaba ekibanja kye n’ennyumba ye. Gekazi n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka, ono ye mukazi, era ne mutabani we Erisa gwe yazuukiza y’oyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gekazi bwe yali abuulira kabaka nga Erisa bwe yazuukiza omuntu eyali afudde, omukazi oli Erisa gwe yazuukiriza omwana we n'atuuka mu kaseera ako, n'akaabirira kabaka ng'amwegayirira okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye. Gekazi n'agamba nti, Ayi kabaka, ono ye mukazi, n'ono ye mwana we, Erisa gwe yazuukiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gehazi bwe yali abuulira kabaka nga Elisa bwe yazuukiza omuntu eyali afudde, omukazi oli Elisa gwe yazuukiriza omwana we n'atuuka mu kaseera ako, n'akaabirira kabaka ng'amwegayirira okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye. Gehazi n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, omukazi ye ono, era ono ye mwana we, Elisa gwe yazuukiza!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yali ng'abuulira kabaka bwe yazuukiza oyo eyali afudde, laba, omukazi gwe yazuukiriza omwana we n'akaabirira kabaka olw'ennyumba ye n'ekyalo kye. Gekazi n'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, ono ye mukazi n'ono ye mwana we Erisa gwe yazuukiza.