2 Kings 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'abuuza omukazi ku ekyo, n'omukazi n'amunyumiza. Kabaka n'amukwasa omukungu omu, n'amugamba nti: “Muddize byonna ebyali ebibye, n'amagoba gonna ku butaka bwe okuva lwe yava mu nsi n'okutuusa kati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka bwe yabuuza omukazi, n’amutegeeza nti bwe kyali. N’alyoka alagira omu ku bakungu amutereereze ensonga ze; n’amugamba nti, “Muddize buli kintu kyonna ekikye, n’obusuulu bwonna obwa kuŋŋaanyizibwa okuva mu kibanja kye okuva ku lunaku lwe yakivaamu okutuusa kaakano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'abuuza omukazi bwe byali, omukazi n'amubuulira byonna. Kabaka n'amuteekako omukungu gwe yalagira nti Omukazi ono muddize byonna ebyali ebibye, n'omuwendo ogugya mu bibala byonna ebyava mu kibinja kye, ebbanga lyonna lye yamala nga taliiwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'abuuza omukazi bwe byali, omukazi n'amubuulira byonna. Kabaka n'amuteekako omukungu gwe yalagira nti: “Omukazi ono muddize byonna ebyali ebibye, n'omuwendo ogugya mu bibala byonna ebyava mu kibanja kye, ebbanga lyonna lye yamala nga taliiwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka bwe yabuuza omukazi n'amubuulira. Awo kabaka n'amuteekako omumbowa omu ng'ayogera nti Muddize byonna ebyali ebibye n'ebibala byonna eby'ekyalo okuva ku lunaku lwe yaviiramu mu nsi okutuusa leero.