2 Kings 8:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Elisa n'agenda e Damasiko; Beni-Adadi kabaka wa Aramu yali mulwadde. Kabaka ne bamubuulira nti: “Omuntu wa Katonda n'eno atuuse, wuuno azze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’agenda e Ddamasiko n’asanga Benikadadi kabaka w’e Busuuli ng’alwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erisa n'ajja e Ddamasiko; era Benikadadi kabaka w'e Busuuli yali ng'alwadde; Benikadadi ne bamubuulira nti Omusajja wa Katonda azze eno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elisa n'ajja e Damasiko nga Benihadadi Kabaka w'e Siriya alwadde. Ne babuulira Benihadadi nti: “Omusajja wa Katonda azze kuno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Erisa n'ajja e Ddamasiko; era Benikadadi kabaka w'e Busuuli yali ng'alwadde; ne bamubuulira nti Omusajja wa Katonda azze eno.