2 Kings 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kazayeli n'agenda okumusisinkana ng'alina eŋŋamiya amakumi ana ezeetisse ebirabo omwali buli kirungi kyonna ekya Damasiko. N'agenda n'ayimirira mu maaso ge, n'amugamba nti: “Mutabani wo, Beni-Adadi kabaka wa Aramu antumye gy'oli ng'abuuza nti: ‘Navvuunuka obulwadde buno?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kazayeeri n’agenda okusisinkana Erisa, n’amutwalira n’ebirabo eby’engeri zonna okuva e Ddamasiko, ku ŋŋamira amakumi ana. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’amugamba nti, “Mutabani wo Benikadadi kabaka w’e Busuuli antumye okukubuuza nti, ‘Ndiwona endwadde eno?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kazayeeri n'agenda okusisinkana Erisa, ng'atutte ku bintu byonna ebirungi eby'omu Ddamasiko, ekirabo ekyetikkiddwa eŋŋamira ana (40). Bwe yatuuka awali Erisa, ne yeeyanjula ng'agamba nti Omwana wo Benikadadi, kabaka w'e Busuuli antumye gy'oli ng'abuuza oba ng'anaawona obulwadde obumuluma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hazayeeli n'agenda okusisinkana Elisa, ng'atutte ku bintu byonna ebirungi eby'omu Damasiko, ekirabo ekyetikkiddwa eŋŋamiya amakumi ana. Bwe yatuuka awali Elisa, ne yeeyanjula ng'agamba nti: “Omwana wo Benihadadi, kabaka wa Siriya antumye gy'oli ng'abuuza oba ng'anaawona obulwadde obumuluma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kazayeeri n'agenda okumusisinkana n'atwala ekirabo eky'oku buli kintu ekirungi eky'omu Ddamasiko, ebyetikkibwa n'eŋŋamira amakumi ana, n'ajja n'ayimirira mu maaso ge n'ayogera nti Omwana wo Benikadadi kabaka w'e Busuuli antumye gy'oli ng'ayogera nti Ndiwona endwadde eno?