2 Kings 9:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa omulanzi yayita omu ku bannakibiina ky'abalanzi, n'amugamba nti: “Weesibe ekimyu mu kiwato, otwale ensale y'omuzigo eno, ogende mu Ramoti-Gileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnabbi Erisa n’ayita omu ku bannabbi abato n’amugamba nti, “Weesibe ekimyu, otwale eccupa eno ey’amafuta, ogende nayo e Lamosugireyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erisa nnabbi n'ayita omu ku baana ba bannabbi n'amugamba nti Weesibe ekimyu otwale eccupa eno ey'amafuta ogende e Lamosugireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elisa omulanzi n'ayita omu ku b'ekibiina ky'abalanzi, n'amugamba nti: “Weeteeketeeke, okwate eccupa eno ey'omuzigo, ogende e Ramoti Gileyaadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Erisa nnabbi n'ayita omu ku baana ba bannabbi n'amugamba nti Weesibe ekimyu otwale eccupa eno ey'amafuta mu mukono gwo ogende e Lamosugireydi.