2 Kings 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Yezebeli embwa zirimukavvulira mu nnimiro y'e Yezureeli; tewaliba amuziika.’ ” N'aggulawo oluggi n'adduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’embwa ziririira Yezeberi mu kibanja eky’e Yezuleeri era tewaliba muntu n’omu amuziika.’ ” Oluvannyuma olw’okwogera ebyo n’aggulawo oluggi n’adduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'embwa ziririira Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri, so tewaliba wa kumuziika. N'aggulawo oluggi n'adduka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewaliba aziika Yezebeeli, wabula omulambo gwe embwa ziriguliira mu bitundu by'e Yezireeli.’ ” Omuvubuka omulanzi bwe yamala okwogera ebyo, n'aggulawo oluggi n'afuluma n'adduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'embwa ziririira Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri, so tewaliba wa kumuziika. N'aggulawo oluggi n'adduka.