2 Kings 9:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu n'afuluma, n'addayo eri abagabe ba mukama we; omu ku bo n'amubuuza nti: “Byonna biri bulungi? Omulalu oyo kiki ekimuleese gy'oli?” N'abagamba nti: “Nammwe omuntu oyo mumumanyi, mumanyi ne byamala googera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeeku bwe yafuluma okugenda eri bakungu banne, omu ku bo n’amubuuza nti, “Kiri bulungi? Omulalu oyo abadde akunoonyeza ki?” Yeeku n’addamu nti, “Omusajja mumumanyi n’enjogera ye mugimanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku n'afuluma n'ajja eri abaddu ba mukama we: ne waba amugamba nti Mirembe? Kiki ekireese gy'oli olusajja luno olulalu? N'abagamba nti Omusajja mumumanyi n'ebigambo bye bwe bibadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yeehu n'afuluma n'addayo mu bakungu banne. Omu ku bo n'amubuuza nti: “Bye mubaddeko bya mirembe? Olusajja olwo olulalulalu lubadde lukwagaza ki?” N'abagamba nti: “Nammwe omusajja oyo mumumanyi n'ebigambo bye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeeku n'afuluma n'ajja eri abaddu ba mukama we: ne waba amugamba nti Mirembe? kiki ekireese gy'oli olusajja luno olulalu? N'abagamba nti Omuajja mumumanyi n'ebigambo bye bwe bibadde.