2 Kings 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bamwanukula nti: “Ekyo si kituufu; tubuulire.” N'abagamba nti: “Bino na bino by'aŋŋambye; aŋŋambye nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Nkusiize omuzigo, obeere kabaka wa Yisirayeli.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamugamba nti, “Ekyo si kituufu! Tutegeeze amazima.” Yeeku n’ayogera nti, “Bw’ati bw’aŋŋambye nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuddamu nti Olimba; tubuulire nno. N'abaddamu nti Bw'ati ne bw'ati bw'aŋŋambye nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Olimba. Tubuulire kaakano.” N'agamba nti: “Aŋŋambye bw'ati ne bw'ati nti Mukama agamba nti: ‘Nkufuseeko omuzigo obe kabaka wa Yisirayeli.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti olimba; tubuulire nno. N'ayogera nti Bw'ati bw'ati bw'aŋŋambye nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.