2 Kings 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagenda bunnambiro, buli omu n'akwata omunagiro gwe, ne bagyaliira wansi w'ebigere bye ku madaala ku ttaka. Ne bafuuwa eŋŋombe nga bwe balangirira nti: “Yewu ye kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne banguwa okuggyako eminagiro gyabwe, ne bagyaliira wansi ku madaala, ne bafuuwa ekkondeere, nga bwe baleekaana nti, “Yeeku ye kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago buli omu n'ayambulamu ekyambalo kye ne bakyaliira ku madaala Yeeku alinnyeko. Ne bafuuwa ekkondeere, ne bagamba nti Yeeku ye kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago buli omu n'ayambulamu omunagiro gwe ne bagyaliira ku madaala Yeehu alinnyeko. Ne bafuuwa ekkondeere, ne bagamba nti: “Yeehu ye kabaka!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne banguwa ne baddira buli muntu ekyambalo kye ne bakyaliira wansi we waggulu ku madaala, ne bafuuwa ekkondeere nga boogera nti Yeeku ye kabaka.