2 Kings 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Yewu mutabani wa Yosafati, mutabani wa Nimusi, ne yeekobera Yoramu. Ye Yoramu yali ne Yisirayeli yenna nga bagezaako okutaasa Ramoti-Gileyaadi ku Kazayeli kabaka wa Aramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi n’asalira Yolaamu olukwe. Yolaamu wamu ne Isirayiri yenna baali bakuuma e Lamosugireyaadi, Kazayeeri kabaka w’e Busuuli aleme okubalumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi nnakola olukwe okutta Yolaamu. Mu kiseera ekyo Yolaamu n'Abaisiraeri bonna baali bakuuma Lamosugireyaadi kireme kuwambibwa Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yeehu mutabani wa Yehosafaati era muzzukulu wa Nimusi n'akola olukwe okutta Yoraamu. Mu kiseera ekyo, Yoraamu n'Abayisirayeli bonna baali bakuuma Ramoti Gileyaadi kireme kuwambibwa Hazayeeli, kabaka wa Siriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi ne yeekobaana Yolaamu. (Era Yolaamu yali ng'akuuma Lamosugireyaadi) ye ne Isiraeri yenna, olwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli: