2 Kings 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akomyewo e Yezureeli ajjanjabibwe ebiwundu Abaaramu bye baali bamutaddeko ng'alwanyisa Kazayeli kabaka wa Aramu. Yewu n'agamba nti: “Oba mmwe mukisiimye, temukkiriza kaawonawo n'omu kufuluma mu kibuga n'agenda abyogera mu Yezureeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yolaamu yali azeeyo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu Abasuuli bye baali bamutaddeko, mu kulwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Yeeku n’ayogera nti, “Bwe muba nga bwe mutyo bwe muwulira, kale waleme okubaawo omuntu yenna atoloka okuva mu kibuga anaabunyisa amawulire mu Yezuleeri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka kabaka Yolaamu yali azzeeyo e Yezuleeri amale okussuuka ebiwundu, Abasuuli bye baamufumita ng'alwanyisa Kazayeeri kabaka wa Busuuli. Awo Yeeku n'agamba bakungu banne nti Oba nga muli ku ludda lwange, temukkiriza muntu n'omu kuseguka n'abomba mu kibuga agende mu bubba okumanyisa ab'e Yezuleeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Kabaka Yoraamu yali azzeeyo e Yezireeli amale okussuuka ebiwundu, Abassiriya bye baamufumita ng'alwanyisa Hazayeeli kabaka wa Siriya. Awo Yeehu n'agamba bakungu banne nti: “Oba nga muli ku ludda lwange, temukkiriza muntu n'omu kuseguka n'abomba mu kibuga agende mu bubba okumanyisa ab'e Yezireeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye kabaka Yolaamu yali akomyewo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumita bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli.) Awo Yeeku n'ayogera nti Oba nga bwe mwagala bwe mutyo, kale waleme okubaawo anaawona n'ava mu kibuga okugenda okukibuulira mu Yezuleeri.