2 Kings 9:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alinnya ekigaali kye, n'agenda e Yezureeli, anti Yoramu eyo gye yali ng'alwadde, ne Akaziya kabaka wa Yuda yali agenzeeyo okumulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alinnya mu ggaali lye, n’agenda e Yezuleeri, kubanga Yolaamu yali awummulidde eyo, nga ne Akaziya aserengese okugenda okumulabako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku n'atambulira mu ggaali n'agenda e Yezuleeri; kubanga Yolaamu yali alwalidde eyo. Era Akaziya kabaka wa Yuda yali azze okulaba Yolaamu obulwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yeehu n'alinnya mu ggaali lye, n'agenda e Yezireeli, kubanga Yoraamu gye yali alwalidde, ne Ahaaziya kabaka wa Buyudaaya yali agenzeeyo okumulaba obulwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeeku n'atambulira mu ggaali n'agenda e Yezuleeri; kubanga Yolaamu yali agalamidde eyo. Era Akaziya kabaka wa Yuda yali aserengese okulambula Yolaamu.