2 Kings 9:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukuumi yali ayimiridde ku munaala gwa Yezureeli, bwe yalengera ekibinja kya Yewu nga kijja, n'agamba nti: “Ndaba ekibinja ekijja.” Yoramu n'agamba nti: “Labayo omwebagazi omusindikeyo okubasisinkana; bw'agenda ababuuze nti: ‘Muzze lwa mirembe?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukuumi eyali mu kigo mu Yezuleeri, bwe yalengera ekibinja kya Yeeku nga kijja, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Waliwo ekibinja kye nnengera ekijja.” Yolaamu n’alagira nti, “Mufune omu ku beebagala embalaasi, mumutume agende abasisinkane, ababuuze nti, ‘Mujja mirembe?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukuumi yali ayimiridde ku kigo mu Yezuleeri, n'alengera Yeeku ng'ajja ne kibiina kye, n'agamba nti Ndaba ekibiina ky'abantu ekijja. Yolaamu n'amugamba nti Ttumayo omuntu eyeebagadde embalaasi abasisinkane, ababuuze nti Mujja lwa mirembe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukuumi yali ayimiridde ku munaala mu Yezireeli, n'alengera Yeehu n'ekibinja kye nga bajja. N'agamba nti: “Ndaba ekibinja ky'abantu ekijja.” Yehoraamu n'agamba nti: “Funayo omuntu omutume agendere ku mbalaasi okubasisinkana, abuuze nti: ‘Muzze lwa mirembe?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukuumi yali ayimiridde ku kigo mu Yezuleeri, n'alengera ekibiina kya Yeeku ng'ajja n'ayogera nti Ndabye ekibiina. Yolaamu n'ayogera nti Ddira eyeebagala embalaasi otume okubasisinkana, ayogere nti Mirembe?