2 Kings 9:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omwebagazi n'agenda okumusisinkana, n'amugamba nti: “Kabaka kino ky'abuuza: ‘Ozze lwa mirembe?’ ” Yewu n'amugamba nti: “Emirembe ogifaako ki? Kyuka ongoberere.” Omukuumi n'agamba nti: “Omukuumi atuuse gye bali, naye takomawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo eyeebagala embalaasi n’agenda okusisinkana Yeeku, n’amugamba nti, “Kabaka abuuza nti, ‘Mujja mirembe?’ ” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.” Omukuumi eyali mu kigo n’ayogera nti, “Atuuse gye bali, naye tadda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuntu eyeebagadde embalaasi n'agenda okumusisinkana n'amugamba nti Kabaka abuuza nti Ozze lwa Mirembe? Yeeku n'ayogera nti Emirembe ogifaako ki? Dda emabega wange ongoberere. Omukuumi n'abuulira kabaka nti Omubaka atuuse gyebali, naye tadda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyeebagadde embalaasi n'agenda okusisinkana Yeehu. N'amugamba nti: “Kabaka abuuza nti: ‘Ozze lwa mirembe?’ ” Ye n'addamu nti: “Emirembe ogifaako ki? Yitawo, odde emabega wange, ongoberere!” Omukuumi n'azzaayo obubaka ng'agamba nti: “Omubaka abatuuseeko, kyokka tadda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omu n'agenda nga yeebagadde embalaasi okumusisinkana n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Mirembe? Yeeku n'ayogera nti Emirembe ogifaako ki? kyuka odde ennyuma wange. Omukuumi n'abuulira ng'ayogera nti Omubaka atuuse gye bali, naye tadda.