2 Kings 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'atuma omwebagazi owookubiri; bwe yabatuukako n'agamba nti: “Kabaka kino ky'agamba: ‘Ozze lwa mirembe?’ ” Yewu n'agamba nti: “Emirembe ogifaako ki? Kyuka ongoberere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’atuma eyeebagala embalaasi owookubiri. Bwe yatuuka we baali, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Mujja mirembe?’ ” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'atuma omubaka ow'okubiri nga yeebagadde embalaasi, n'atuuka gye baali n'amugamba nti Kabaka abuuza nti Ozze lwa mirembe. Yeeku n'addamu nti Emirembe ogifaako ki? Dda emabega wange ongoberere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atuma omulala eyeebagadde embalaasi, n'abatuukako, n'agamba nti: “Kabaka abuuza nti: ‘Muzze lwa mirembe?’ ” Yeehu n'addamu nti: “Emirembe ogifaako ki? Yitawo, odde emabega wange, ongoberere!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'atuma ow'okubiri nga yeebagadde embalaasi, n'atuuka gye baali n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Mirembe? Yeeku n'addamu nti Emirembe ogifaako ki? kyuka odde ennyuma wange.