2 Kings 9:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukuumi n'agamba nti: “Atuuse gye bali, era naye takomawo. Kyokka engoba y'ekigaali, eringa eya Yewu mutabani wa Nimusi; akigoba ng'omulalu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukuumi n’addamu n’ayogera nti, “Oli naye atuuse, gye bali, naye tadda. N’enneebagala y’embalaasi efaanana ng’enneebala ya Yeeku muzzukulu wa Nimusi, kubanga enneebagala ye yakiralu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukuumi n'abuulira kabaka nti Omubaka atuuse gyebali, so tadda: era entambula eriŋŋaanga entambula ya Yeeku mutabani wa Nimusi; kubanga atambula ng'awulukuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukuumi era n'azzaayo obubaka ng'agamba nti: “Omubaka abatuuseeko, kyokka tadda! N'envuga y'eggaali eri ng'eya Yeehu muzzukulu wa Nimusi, kubanga Yeehu avuga kiralu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukuumi n'abuulira ng'ayogera nti Atuuse gye bali, so tadda: era entambula eriŋŋanga entambula ya Yeeku mutabani wa Nimusi; kubanga atambula ng'awulukuka.