2 Kings 9:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoramu n'agamba nti: “Tandiika ekigaali.” N'atandiika ekigaali kye. Yoramu kabaka wa Yisirayeli ne Akaziya kabaka wa Yuda, buli omu mu kigaali kye, ne bafuluma okusisinkana Yewu, ne bamusanga mu nnimiro ya Naboti ow'e Yezureeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yolaamu n’ayogera nti, “Muteeketeeke eggaali lyange.” Bwe baamala okuliteekateeka, Yolaamu kabaka wa Isirayiri ne Akaziya kabaka wa Yuda, ne bafuluma ekibuga, buli omu ng’ali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeeku, era baamusisinkanira mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yolaamu n'ayogera nti Muteeketeeke eggaali lyange. Ne bateekateeka eggaali lye. Yolaamu kabaka wa Isiraeri ne Akaziya kabaka wa Yuda ne bafuluma, buli muntu mu ggaali lye, okusisinkana Yeeku, ne bamusanga mu nnimiro eyali eya Nabosi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoraamu n'agamba nti: “Muteeketeeke eggaali lyange.” Ne baliteekateeka. Awo Yehoraamu kabaka wa Yisirayeli ne Ahaaziya, kabaka wa Buyudaaya, ne bafuluma nga buli omu ali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeehu, ne bamusanga mu nnimiro eyali eya Naboti Omuyezireeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yolaamu n'ayogera nti Muteeketeeke. Ne bateekateeka eggaali lye. Yolaamu kabaka wa Isiraeri ne Akaziya kabaka wa Yuda ne bafuluma, buli muntu mu ggaali lye, ne bafuluma okusisinkana Yeeku, ne bamusanga mu musiri gwa Nabosi Omuyezuleeri.