2 Kings 9:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu n'aleega omusaale gwe n'akuba Yoramu mu mugongo, akasaale ne kafulumira mu mutima gwe, amangu ago n'agwa wansi mu kigaali kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeeku n’aggyayo omutego gwe n’obusaale bwe, n’amaanyi ge gonna n’anaanuula omutego n’alasa Yolaamu mu kibegabega, akasaale ne kafumita omutima gwe, n’agwa mu ggaali lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeeku n'anaanuula omutego gwe n'amaanyi ge gonna, n'alasa Yolaamu akasaale mu mugongo wakati, ne kamuyita mu mutima, n'agwa mu ggaali lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu n'anaanuula omutego gwe n'amaanyi ge gonna, n'alasa Yehoraamu akasaale mu mugongo wakati, ne kamuyita mu mutima, n'agwa mu ggaali lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeeku n'anaanuula omutego gwe n'amaanyi ge gonna n'alasa Yolaamu wakati w'emikono gye, akasaale ne kayitamu ne kagguka awali omutima, n'agwira mu ggaali lye.