2 Kings 9:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu n'agamba Bidukari omugabe ow'oku kigaali nti: “Muggyeewo, omukasuke eri mu nnimiro ya Naboti ow'e Yezureeli. Jjukira nze naawe bwe twali tuvuga naye ebigaali emabega wa Akabu kitaawe, Omukama n'alanga ku ye nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeeku n’agamba Bidukali, omugoba we ggaali lye nti, “Mumuggyeemu, mumusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. Ojjukira bwe twali tuvugira amagaali gaffe emabega wa Akabu kitaawe, Mukama n’ayogera nti ekintu kino kirimutuukako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku n'agamba Bidukali omuddu we nti Musitule omusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri: kubanga jjukira, nze naawe bwe twali twebagadde embalaasi nga ffembi tugoberera Akabu kitaawe, Mukama bwe yayogera ebigambo bino ebikolimira Akabu nti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu n'agamba Bidikaari omukungu we nti: “Musitule, omusuule mu nnimiro y'omugabo gwa Naboti Omuyezireeli, kubanga jjukira, nze naawe bwe twali twebagadde embalaasi nga ffembi tugoberera Ahabu kitaawe, Mukama bwe yayogera ebigambo bino ebikolimira Ahabu nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeeku n'agamba Bidukali omwami we nti Musitule omusuule mu musiri ogw'ekyalo kya Nabosi Omuyezuleeri: kubanga jjukira, nze naawe bwe twebagala, fembi nga tugoberera Akabu kitaawe, Mukama n'amuteekako omugugu guno; nti