2 Kings 9:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Ekiro kya jjo nalaba omusaayi gwa Naboti n'omusaayi gw'abaana baabwe, mazima, Omukama y'agamba, nzija kuwoolera eggwanga olw'omusaayi ogwo ku ggwe, mu nnimiro eno yennyini.’ Kale nno, muggyeewo omukasuke eri mu nnimiro ng'Omukama bw'agambye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Mazima ddala, nga jjo bwe nnalabye omusaayi gwa Nabosi n’omusaayi gw’abaana be, siireme kukusasulira mu kibanja kino kyennyini,’ bw’ayogera Mukama. Kaakano mumusitule mumusuule mu kibanja ekyo ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti Mazima nnalabye jjo omusaayi gwa Nabosi n'omusaayi gw'abaana be, bw'ayogera Mukama; era ndikusasulira mu nnimiro eno, bw'ayogera Mukama. Kale nno musitule omusuule mu nnimiro ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Jjo nalaba Naboti ne batabani be nga batemuddwa. Kale ndikubonereza mu nnimiro eno.’ N'olwekyo musitule, omusuule mu nnimiro eyo, okutuukiriza ekyo Mukama kye yagamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima nalabye jjo omusaayi gwa Nabosi n'omusaayi gw'abaana be, bw'ayogera Mukama; era ndikusasulira mu musiri guno, bw'ayogera Mukama. Kale nno musitule omusuule mu musiri ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama.