2 Kings 9:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ekyo, n'adduka ng'akutte ery'e Beti-Kaggani. Yewu n'amumerako ng'agenda aleekana nti: “N'oyo mumutte.” Ne bamufumitira ku kigaali kye ku kasozi k'e Guru ekiri okumpi ne Yibulewamu, naye n'addukira e Megiddo, n'afiira eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebyabaawo, n’addukira mu kkubo ery’omu nnyumba ey’ennimiro. Yeeku n’amugoba, nga bw’ayogerera waggulu nti, “Naye mumutte!” Ne bamulasa, ne bamuleetako ekiwundu ng’addukira e Guli ekiriraanye Ibuleamu, ng’ali mu ggaali lye, naye n’asobola okutuuka e Megiddo, era eyo gye yafiira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebiguddewo, n'addukira mu ggaali lye, ng'akutte ekkubo erigenda e Besikagaani. Yeeku n'amuwondera, era n'agamba basajja be nti N'oyo mumuttire mu ggaali lye. N'addukira e Megiddo n'afiira eyo
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahaaziya kabaka wa Buyudaaya bwe yalaba ebiguddewo, n'addukira mu ggaali lye, ng'akutte ekkubo erigenda e Beeti-Haggani. Yeehu n'amuwondera, era n'agamba basajja be nti: “N'oyo mumuttire mu ggaali lye.” N'addukira e Megiddo, n'afiira eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba kino, n'addukira mu kkubo ery'omu nnyumba ey'olusuku. Yeeku n'amugoberera n'ayogera nti Mumuttire mu ggaali naye: ne bamuttira awalinnyirwa okugenda e Guli ekiriraanye Ibuleamu. N'addukira e Megiddo n'afiira eyo.