2 Kings 9:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu bwe yali ayingira mu mulyango n'amugamba nti: “Zimuri, eyasse mukama we, ozze lwa mirembe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeeku bwe yali ng’ayingirira mu wankaaki, Yezeberi n’amubuuza nti, “Ojja mirembe, ggwe Zimuli, eyatemula mukama wo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeeku bwe yali ng'ayingira mu mulyango, Yezeberi n'amukoowoola nti Ggwe Zimuli, eyatta mukama wo, ozze lwa mirembe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu bwe yali ng'ayingira mu mulyango, Yezebeeli n'amukoowoola nti: “Ggwe Zimuri, eyatta mukama wo, ozze lwa mirembe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeeku bwe yali ng'ayingira mu mulyango, n'ayogera nti Mirembe, ggwe Zimuli, omussi wa mukama wo?