2 Kings 9:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu n'ayingira n'alya n'anywa. N'agamba nti: “Mufeeyo okulaba ng'omukazi oyo omuvumirire mumuziika, anti yali muwala wa kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeeku n’ayingira, n’alya era n’anywa. N’ayogera nti, “Mulabirire omulambo gw’omukazi oyo eyakolimirwa, era mulabe nga guziikibwa kubanga yali mumbejja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku bwe yayingira mu lubiri, n'alya n'anywa, n'agamba nti Mulabe nti muziika omukazi oyo eyakolimirwa, kubanga muwala wa kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu n'ayingira mu lubiri, n'alya, n'anywa, n'agamba nti: “Mulabe nti muziika omukazi oyo eyakolimirwa, kubanga muwala wa kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yayingira n'alya n'anywa; n'ayogera nti Mulabirire nno omukazi ono eyakolimirwa mumuziike: kubanga mwana wa kabaka.