2 Kings 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu n'asituka n'ayingira mu nnyumba. Omulanzi n'ayiwa omuzigo ku mutwe gwa Yewu, n'agamba nti: “Kino ky'agamba Omukama Katonda wa Yisirayeli: ‘Nkusiize omuzigo obeere kabaka w'abantu b'Omukama Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeeku n’asituka n’ayingira mu nnyumba, nnabbi n’amufukako amafuta, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nkufukako amafuta okuba kabaka w’abantu ba Mukama, Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeeku n'asituka bombi n'ebayingira mu kisenge; omulenzi Nnabbi n'afuka amafuta ku mutwe gwa Yeeku ng'agamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu n'asituka, bombi ne bayingira mu kisenge. Omuvubuka omulanzi n'afuka omuzigo ku mutwe gwa Yeehu, n'amugamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nkufuseeko omuzigo obe kabaka w'abantu bange Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agolokoka n'ayingira mu nnyumba; n'afuka amafuta ku mutwe gwe n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri.