2 Kings 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, bwe ntyo mpoolere eggwanga olw'omusaayi gw'abalanzi bange n'omusaayi gw'abaweereza b'Omukama bonna Yezebeli be yatta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olikuba ennyumba ya Akabu mukama wo mpalane eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bange bannabbi, n'omusaayi gw'abaddu bonna aba Mukama Yezeberi be yatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era olitta ab'ennyumba ya Ahabu mukama wo, mpoolere eggwanga olw'abaweereza bange abalanzi, n'olw'abaweereza bange abalala, Yezebeeli be yatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olikuba ennyumba ya Akabu mukama wo mpalane eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bange bannabbi, n'omusaayi gw'abaddu bonna aba Mukama eri omukono gwa Yezeberi.