2 Kings 9:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyumba ya Akabu yonna ejja kusaanawo, era nzija kukutulako buli ayitibwa omusajja mu Yisirayeli akyasigaddewo mu nnyumba ya Akabu, ka abeere muddu oba mwana wa ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyumba yonna eya Akabu erisaanyizibwawo, era ndizikiririza ddala buli mwana wabulenzi, oba muddu oba wa ddembe mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ennyumba yonna eya Akabu erizikirira: era ndimalawo eri Akabu buli mwana wa bulenzi omuto n'omukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'ennyumba ya Ahabu bonna ba kuzikirira. Ndimalirawo ddala mu Yisirayeli buli mwana ow'obulenzi omuto n'omukulu asibuka mu Ahabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennyumba yonna eya Akabu erizikirira: era ndimalawo eri Akabu buli mwana wa bulenzi n'oyo asibiddwa n'oyo atasibiddwa mu Isiraeri: