2 Peter 1:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo muliweebwa mu bungi okuyingira mu bwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama era Mulokozi waffe Yezu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mutyo mulyoke muyingizibwe mu bugagga obw'obwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo muliyingizibwa n'ekitiibwa mu Bwakabaka obutaggwaawo, obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga bwe kityo tewalibulawo bugagga mu kuyingira kwammwe mu bwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.